(A) Ennyingiza okuva mu bipangisibwa
Guno gwe muwendo gw’ensimbi ogufunibwa omuntu oba kkampuni mu mwaka gw’ebyennyingiza okuva mu kupangisa eky’obugagga kye (ettaka oba ekizimbe) mu Uganda, oluvannyuma lw’okutoolako ensaasaanya eteekebwa ku kuyimirizaawo ekipangisibwa ekyo.
(B) Nannyini kizimbe/ettaka ekipangisibwa
Ono ye muntu oba kkampuni apangisa omuntu omulala (omupangisa) eky’obugagga kye olw’okukifunamu ensimbi. Nannyini kizimbe ayinza okubeera:
- Omuntu ssekinnoomu, okugeza Mathew Etima
- Ekitongole, okugeza Properties (U) Ltd.
- Gavumenti, okugeza Obukulembeze bwa Disitulikiti y’e Luwero
- Ettendekero oba Ekibiina, okugeza Yunivasite y’e Makerere, UWESO, n’ebirala
(C) Omupangisa
Ono ye muntu akozesa eky’obugagga ky’omuntu omulala mu ngeri y’obusuubuzi era nga akisasulira ensimbi
EMITENDERA GY’OKUBALIRIRA OMUSOLO OGUVA MU BIPANGISIBWA KU BANTU SSEKINNOOMU
Omutendera I
Gatta omuwndo gw’ensimbi oguva mu kupangisa ebizimbe oba ettaka mu mwaka.
Omutendera II
Toolako ensimbi ez’essalira 2,820,000
Weetegereze:
Teri nsimbi ndala zitoolwako
Ensimbii ezzijjibwako omusolo:
R-2,820,000
Omutendera III:
Funa omusolo ogusasulwa ng’ofuna ebitundu 12 ku buli 100 okuva ku nsimbi ezijjibwako omusolo kwe kugamba:
Omusolo ogusasulibwa = 12% X okuva ku nsimbi ezijjibwako omusolo
Ku bakola emirimu gy’obwegassi (Partnerships).
Zino zijjibwa ku buli muntu ali mu bwegassi obwo okusinziira ku mugabo gwe ku magoba ga bizinesi eyo.
Omutendera I
Gatta omuwendo gw’ensimbi ogwa buli muntu ali mu bwegassi (partner) oguva mu bipangisibwa mu mwaka. Zino katuziyite R
Omutendera II
Toolako ensimbi ez’essalira 2,820,000
Weetegereze
Teri nsimbi ndala zitoolwako
Ensimbii ezzijjibwako omusolo
R– 2,820,000
Omutendera III
Omusolo ogusasulwa guli ebitundu 12% okuva ku nsimbi ezijjibwako omusolo. Guno gujjibwa ku buli muntu okusinziira ku mugabo gw’alina ku magoba.
Ekyokulabirako ku bantu ssekinnoomu
Ensimbi zonna eziva mu bupangisa tugeze 6,000,000 buli mwaka
Omutendera I
Funa ensimbi zonna eziva mu bupangisa
= 6,000,000
Omutendera II
Toolako ensimbi ez’essalira
=6,000,000-2,820,000
=3,180,000
Omutendera III
Ensimbi ezijjibwako omusolo
= 3,180,000
Omutendera IV
Balirira omusolo ku bitundu 12 ku buli 100
(12%)
=12/100 x 3,180,000
Omusolo oguva mu bipangisibwa guli 381,600
Ekyokulabirako ku bakola emirimu gy’obwegassi
Nga tukozesezza okubalirira okwo waggulu, singa Mwanje ne Kagolo bakola omulimu gw’obwegassi, nga bagabana mu bitundu 2:3,
Okubalirira omusolo Mwanje gw’asasula
= 2/5 x 381,600
= 152,540
Okubalirira omusolo Kagolo gw’asasula
= 3/5x 381,600
= 228,960
N’olwekyo, Mwanje asasula 152,640 ate
Kagolo n’asasula 228,960
KU ZI KKAMPUNI
Omutendera I
Gatta omuwendo gw’ensimbi oguva mu bipangisibwa; ka tuguyite R
Omutendera II
Toolako ebitundu okutuuka ku bitundu 50 ku buli 100 okuva ku muwendo ogwo nga zino zibalibwa nga ensimbi ezisaasaanyiziddwa okulabirira ekipangisibwa
Weetegereze
Ensaasaanya eyo ekkirizibwa oluvannyuma lw’okulaga obukakafu eri ekitongole kya URA nga kino kikolebwa okuyita mu biwandiiko
Omutendera III
Balirira omusolo ku bitundu 30 ku buli 100
Ekyokulabirako ku Kkampuni
Singa kkampuni eyingiza ensimbi 30,000,000 nga ku nsimbi ezo, 15,000,000 zaava mu bupangisa.
Ensaasaanya: Abalongoosa (3,000,000),
Obukuumi (4,000,000) okuddaabiriza (4,000,000) Omusolo oguva ku nsimbi z’obupangisa gubalibwa guti:
Omutendera I
Funa omuwendo gw’ensimbi ogwava mu bipangisibwa = 15,000,000
Omutendera II
Toolako ebitundu 50 ku buli 100 okuva ku nsimbi eziyingiziddwa mu mwaka Ensaasaanya
= 3,000,000+4,000,000+4,000,000
= 11,000,000
Naye jjukirwa ensimbi ezikkirizibwa okutoolwako ziri ebitundu 50 ku 100
Kwe kugamba nti 50%X15,000,000
= 7,500,000
Omutendera III
Balirira omusolo ku bitundu 30 ku buli 100
(30%)
= 30/100 x 7,500,000
Omusolo oguva mu bupangisa guli
2,250,000
OBUVUNAANYIZIBWA BW’OMUWI W’OMUSOLO
- Teekamu ennyanjula (litaani) y’omwaka ey’omusolo oguva mu bipangisibwa nga kuno ogoberezaako obukakafu bw’ensasula okugeza lisiiti z’owa abapangisa ssaako n’endagaano eziba zikoleddwa wakati wammwe.
- Laga ebifo byonna ebivaamu ensimbi z’obupangisa mu mwaka gw’ebyenfuna. Omwaka guno gutandika nga 1 Ogwomusanvu, okutuuka nga 30 Ogwomukaaga omwaka oguddako. Kyokka osobola okukozesa omwaka omulala gwonna nluvannyuma lw’okuweebwa olukusa
- Teekamu litaani yo eri URA. Osobola okufuna okuyambibwa okuva ku woofiisi ya URA eziri mu kitundu kyo. Kino kiko ng’emyezi mukaaga teginnaggwaako oluvannyuma lw’omwaka gw’eby’enfuna
- Sasula omusolo mu bujjuvu nga ekiseera tekinnayita
EDDEMBE OKUBANJA URA OMUSOLO OGUSASUDDWA
Omuwi w’omusolo yenna alina ebbeetu okuba ng’abanja URA omusolo ogusasulwa ng’omwaka gw’ebyenfuna tegunnaggwaako
Okulabula:
Obubaka buno bugendereddwamu kulambika bawi ba musolo na kubamanyisa buvunaanyizibwa bwabwe kyokka. N’olwekyo, tebulina kukozesebwa mu kifo kya tteeka lyonna; era busobola okukyusibwa singa wabaawo enkukakyuka mu tteeka erirambika ensasula y’omusolo